Amawulire

Ba ssemaka bakwatiddwa lwa kabuyonjo .

Ali Mivule

March 16th, 2014

No comments

 

youths arrested

Mu  disitulikiti ye Luwuuka, abakola ku by’obulamu baliko ba ssemaka basatu  beebakutte ku kyaalo Budabangula okuli ne ssentebe w’ekyalo, nga bano basangiddwa nga tebalina kabuyonjo.

Abakwatiddwa kuliko Ali kidongo, Fahad mukama  Devid Tenywa nga ono yye ssentebe w’ekyalo kino.

Akola ku by’obulamu mu district eno Ali Lubogo, agambye nti kiswaza okulaba nga bassemaka okuli ne ssentebe omulamba balemwa okusima obunya obukyamirwamu.

Kati bano baggaliddwa, era nga bakuvuunanibwa okusinziira ku mateeka g’ekitundu agaayisibwa.