Amawulire
Bataano bafudde Waragi
Abantu abasoba mu 5 bafudde mu ggwanga lya Kenya oluvanyuma lw’okwekatankira waragi alimu obutwa.
Bino bibadde mu ssaza lye Nandi.
Abantu abalala 19 bawereddwa ebitanda ng’ebeera mbi nyo ddala.
Abafudde kuliko omutaka , omusawo wamu n’omusomesa omu, kyokka nga kiteberebwa okuba ng’omwenge guno gwavudde mu ggwanga lya Uganda.