Amawulire
Batuuyanye nga zikala
Abakungu b’ekitongole ekivunanyizibwa ku bamusiga nsimbi bali mu kattu lwakulemererwa kubalirira nsimbi eziri eyo mu bukadde 191.
Ensimbi zino zaali zakugula mafuta okuddabiriza ekibangirizi kyabannamakolero e Namanave.
Abakungu bano amakya galeero bwabadde balabiseeko maaso g’akakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka n’ebyobugagga bya gavumenti.
Mu kwewozaako akulira ekitongole kino boss, Frank Sebbowa ategezezza nga ensimbi zino bwezakozesebwa yinginiya ategerekese nga Rutagi okuva mu minisitule y’ebyenguudo.
Kati ssentebe w’akakiiko kano Florence Namayanja alagidde yinginiya ono okuzza mangu ensimbi zino.