Amawulire
Bawakanyizza eky’okujjawo ebiyiriro bya Murchison falls
Bya Benjamin Jumbe
Amakampuni agali mu mirmu gyebyobulambuzi wansi wekibiina ekibagatta Uganda Tour Operators bawakanyizza entekateeka ya gavumenti, okujjawo ebiyiriro bya Murchison falls, okuzimba ebibiro lyamasanyalaze.
Kino kyazuuse oluvanyuma lwekirago ekyafulumidde mu mawulire, ngekitongole ekvunayzibwa ku masanyalaze ekya electricity Regulatory Authority kiraga nga bwekigenda okuzimba ebibiro, lyamasanyalaze mu district ye Kiryandongo nemu district ye Nwoya.
Kati bwebabadde bogera ne banamawulire mu Kampala ssentebbe wa kampuni zebyobulambuzi, Everest Kayondo said agambye nti kino kigenda kibamalamu amaanyi gebatekamu, ngabantu ssekinoomu okutumbula ebyobulambuzi mu gwanga.
Gambye nti kati abwandikidde abekitongle kya Electricity regulatory Authority, minister owebyobulambuzi nomukulembeze we gwanga, nga basubira nti baakubanukula mu bwangu.
Yye presidenti wekibiina kya Uganda Tourism Association Pearl Kakooza, azikubyemu makiikakiika, nagamba nti tebagenda kuzinga mikono ngebyobugagga bye gwanga ebyensibo bisanawo.