Amawulire
Bayinginiya balabudde ku bulabe obuli kuluguudo lwé Masaka mu Lwera
Bya Mike Sebalu,
Ekibiina ekigatta ba Engineers mu ggwanga ekya Uganda Institute of Professional Engineers kilabudde nga oluguudo mu bitundu by’e Lwera ng’ova e Kampala okudda e Masaka bwelwandituusa eggwanga lino ku njega singa tewabeerawo kyankomeredde kilukorwako olw’okubomoka buli kaseera nga kiva ku kwanjaala kw’amazzi buli nkuba lwetonnya.
Nga basinziira mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku kitebye kyabwe e Kyambogo, Eng Andrew Muhwezi nga ye President w’ekibiina kino agamba nti okusinzira ku bye bazudde, abantu abasanyawo obutonde bwensi mu Lwera be baviriddeko oluguudo luno okwononeka buli olukya.
Ategezeza nga gavument kye kiseera ekome kubbikolwa byokusanyawo obutonde bwensi ebisusse mu kitundu lino.