Amawulire
Bbomu mu Tanzania asse munaana
Abantu munaana beebalumiziddwa mu bbomu etegeddwa mu kirabo ky’emmere mu kibuga Arusha Tanzania.
Poliisi egambye nti abateze bbomu eno baagikasuse okuyita mu ddirisa .
Ekirabo kino kisinga kubaamu bagwiira era nga abasinga babeera balambuzi
Ssabbiiti ewedde bbomue ndala yakasukibwa mu nju y’omu ku bayisiraamu abamaanyi mu ggwanga lino.