Amawulire

Besigye akubye ebituli mu alipoota yákakiiko ka FDC ku Nsimbi ezaayingira mu Kibiina

Besigye akubye ebituli mu alipoota yákakiiko ka FDC ku Nsimbi ezaayingira mu Kibiina

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyali pulezidenti w’ekibiina gavumenti ekya Forum for Democratic Change-FDC, Rtd Col. Dr. Kiiza Besigye, akubye ebituli mu alipoota ya kakiiko ka bakadde mu FDC akaweebwa omulimu gwókunonyereza kunsimbi zékibi ezigambibwa okujja mu kibiina kyabwe.

Okusinziira ku alipoota eyayanjurwa kakiiko kabakulembeze ba FDC akókuntiko, aka National Council mu gyebuvuddeko, akakiiko kalemereddwa okufuna obujulizi bwonna ku ssente encaafu ezigambibwa nti zaava wa pulezidenti Museveni okuyamba ku FDC okutambuza kampeyini mu kulonda kwa bonna okwa 2021.

Ekitundu ku bakulembeze ba FDC nga bakulembeddwamu omwogezi w’ekibiina, Semujju Nganda, balumiriza nti waliwo ssente ezitannategeerekeka muwendo ezaafunibwa omuwandiisi w’ekibiina, Nathan Nandala Mafabi ne pulezidenti w’ekibiina Patrick Amuriat okuva ewa Museveni. Bano era balumiriza nti waliwo akakodyo k’okutunda ekibiina kino eri Gavumenti ya NRM eri mu buyinza.

Kati Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi ye e Katonga mu Kampala, akawungeezi ka leero, Besigye, alaze obwennyamivu nti akakiiko k’abakadde tekaatwala kaweefube okunoonyereza kunsimbi zino eziviriddeko embiranye mu kibiina okusobola okuteekawo amazima.

Agambye nti ekigendererwa ky’akakiiko kano kwali kunoonyereza; ssente mmeka ezaayingira mu kibiina, ensibuko yaazo, ekigendererwa kyazo n’ebiragiro ebikwatagana n’okukifulumya.

Wabula Besigye agamba nti alipoota y’akakiiko teyazudde mazima ku bibuuzo bino byonna songa balina obujulizi obulaga nti ssente zino oba za pulezidenti Museveni oba zeewolwa okuva awalala zaayingira ekibiina kyabwe.

Awadde obujulizi nti yafuna obukadde bwensimbi 300 okuva ewa Nandala Mafabi eyamusaba azimukuumire nti zaali za kukola ku ba agenti b’ekibiina mu kalulu ka 2021.

Besigye era agamba nti Amuriat naye yakkiriza nti yafuna shs 280M okuva e Nandala mu kiseera kyekimu.