Amawulire
Besigye akyalidde ku munnamawulire eyakubwa
Uganda eyolekedde akaseera k’ebbula ly’abakulembeze abanakulemberamu enkyukakyuka
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye agamba nti ekizibu kivudde ku basomyeeko okutya eby’obufuzi .
Dr. Besigye wabula agamba nti embeera eno esobola okuggwaawo ssinga akakiiko akalondesa tekabaamu kyekubiira abantu nebaddamu okukkiririza mu kulonda
Besigye bino abyogedde akyalidde munnamawulire wa WBS eyakubwa Andrew Lwanga era ng’eno gy’asinzidde n’avumirira ebikolwa by’obukambwe ku bannamawulire abatalina musango.
a