Amawulire

Besigye ayogedde ku kya Gavt okulagira abayizi okudda eka amangu

Besigye ayogedde ku kya Gavt okulagira abayizi okudda eka amangu

Ivan Ssenabulya

November 9th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekisinde ekye byobufuzi ekya People’s Front for Transition (PFT) kigamba nti gavumenti okulagira amasomero gaggalewo mu bwangu kivudde ku mbeera ye byenfuna eri mu ggwanga so si kulwanyisa kirwadde kya Ebola nga minisita bwe yategeeza.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala eggulo minisita w’ebyenjigiriza ebya pulayimale yalagidde abakulira amasomero okwetoloola eggwanga okukomekkereza ttaamu eyokusatu nga 25th November mu kawefube wokutangira ekirwadde kye Ebola okusasaanira mu bayizi, abasomesa n’abakozi abalala.

Wabula bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku ofiisi zekibiina kya Forum for Democratic Change, e Najjanankumbi, Ssentebe wa PFT Dr. Kizza Besigye agambye nti gavumenti eri mu buyinza erudde ng’eremereddwa okukulembeza ebyenjigiriza yensonga lwaki kyangu okulagira okuggala amasomero abayizi badde eka kundwadde esobola okutangirwa.

Ategeezezza nti okusindika abayizi awaka kya bulabe nnyo kuba bakolagana ne bannaabwe bangi n’abantu b’oku Byalo.

Besigye abikudde ekyama nti PFT mu bbanga ttono egenda kukunga abazadde mu ggwanga okulwanirira okusomesa kwabaana baabwe