Amawulire
Besigye ne Kyagulanyi bogedde ku kulonda kwa Zambia
Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya
Eyavuganyako kuntebbe eyobwa pulezidenti era nga yaliko ne senkagale wékibiina kya FDC Rtd Col Dr Kiiza Besigye, atendereza abadde omukulembeze weggwanga erya Zambia, Edgar Lungu olwokukkiriza okuwangulwa mu kulonda okwabadewo kulwokuna lwa ssabiiti ewedde.
Akakiiko ke byókulonda mu Zambia kalangiridde Hakainde Hichilema ow’oludda oluvuganya, ngomukulembeze weggwanga omugya oluvanyuma lwokusinga omukulembeze abadde nóbululu obusoba mu kakadde kalamba.
Lungi yasoose kulangirira nga bwatagenda kukkiriza buwanguzi bwa Hichilema nga agamba nti aboludda oluvuganya babbye akalulu
Wabula oluvanyuma yekubye engalike nakkiriza ebyavudde mu kulonda era nayozayoza Hichilema olwobuwanguzi.
Okuyita ku mukutu gwe ogwa twitter Besigye asabye abakulembeze bamawanga ga Africa okweyigiriza empisa eyokukkiriza okusalawo kwa bannansi naddala bwekituuka mu kwelondera abakulembeze be Bagala.
Ate Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Uganda Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, ayozayozezza munne avuganya gavumenti mu gwanga lya Zambia olwokuwangula okulonda kwa bonna.
Kati Kyagulanyi, ayise ku twitter nagamba nti obubaka buno buvudde eri banna-Uganda bonna abakiririza mu nfga eyamateeka.
Agambye nti obuwanguzi buno ssi bwabannansi ba Zambia bokka, wabula bwa Africa yonna.