Amawulire

Bobi ataddeyo obujulizi obulala okujjayo omusango

Bobi ataddeyo obujulizi obulala okujjayo omusango

Ivan Ssenabulya

February 25th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Munnamateeka okuva mu kampuni ya Lukwago and Co Advocate Ukasha Ssekajja akoze kirayiro, okuwagira okusaba, kwakulembera ekibiina NUP Robert Kyagulanyi Sentamu okujjayo omusango, mwabadde awakanyiriza obuwanguzi bwa Yoweri Museveni.

Lukwago and Co Advocates yeemu ku kampuni zebaali bapangisa, okuwoza omusango gwa Kyagulanyi.

Mu bujulizi bwe bweyataddeyo mu kooti ensukulumu olunnaku lwe ggulo, Ssekajja ensonga zeyawadde agambye nti basaba bakole enongosereza mu mpaaba yaabwe, okusaba kooti nekugoba, nebasaba bongere ku bujulii nakyo kooti nekgaana kwekusalaow okujja enta amu musango guno kubanga obujulizi bwebatekayo tebujja kuwanirirra musango gwabwe.

Ssekajja era agambye nti yye ne bananamteeka abalala, bwayizaamu ne Kyagulanyi nebakaanya bagujjeyo, wabulanga tewabadde nguzi yonna okuva ku bebaali bawawabira okuli Museveni, akakiiko kebyokulonda oba ne Ssabawolereza wa gavumenti.

Olunnaku lwe ggulo Ssabalamuzi we gwanga Alfonse Owinyi Dollo yawabudde Kyagulanyi ku kusaba kwe okwokujjayo omusango, ayongereko obujulizi, mu kirayiro okuva mu bannamateeka be, okukakasa nti tewabaddewo kubugulirira.

Kati kooti yakutuula, wiiki ejja ku byokusaba okujjayo omusango.