Amawulire

Bonna basome tannavaamu bibala-Ssewungu

Ali Mivule

February 3rd, 2014

No comments

sewungu 2

Ababaka ba palamenti abatali abatali bami bagaala ebivudde mu maosmero ga bonna basome bifulumizibwe byokka

Kiddiridde ebyavudde mu bigezo okulaga nti abayizi mu masomero gano bakyakolera ddala bubi kyokka nga tewali ekissaako ssira kubanga bifulumira wamu n’ebigezo by’abalala buli omu amaaso n’agassa ku bayise.

Omubaka akiikirira abantu be kalungu mu bugwanjuba, Joseph Ssewungu agamba nti kino kyakuyamba n’omunya oba enkola ya bonna basome eriko akagivaamu.

Bbo abayizi ku mitendera egyenjawulo olwaleero batandise olusoma olusooka mu mwaka guno.

Abayizi balabiddwaako mu kibuga nga batisse ebintu baabwe n’abazadde nga bazzaayo abaana baabwe.

Bbo abataxi bawadde banaabwe amagezi kufuba obutayongeza bisale kubanga embeera y’ebyenfuna ssi nyangu