Amawulire

Buganda esabye Gavt yeetegereze endagaano yémmwanyi

Buganda esabye Gavt yeetegereze endagaano yémmwanyi

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obwakabaka bwa Buganda busabye gavumenti okwetegereza endagaano yé mmwanyi gyeyakola nemusiga nsimbi kuba terina weyambira mulimi owawansi.

Bwabadde ayogerera mu Lukiiko lwa Buganda olwa 29th olutuula olwokusatu e Bulange Mengo, katikkiro Charles Peter Mayiga, yewunya okulaba nti abantu abali mu byemmwanyi bonna tebebuuzibwako ate gavt obuyinza bwonna ne bukwasa musiga nsimbi Enirica pinetti.

Ono asabye gavumenti okukola enkyukakyuka mu ndagaano eno nabakwatibwako ensonga bebuuzibweko naddala mu kumanya emiwendo gye mmwanyi nga bweginakerekebwa.

Obwakabaka era sibusanyufu kukya gavumenti okuwa musiga nsimbi ebbanga lya myaka 10 nga tasasula.

Mungeri yemu ategezeza nga bwewabaddewo okweyongera mu bungi bwe mmwangi nómutindo gwazo bukya pulogulamu ya Buganda eya Emmwanyi Terimba program etandika.