Amawulire
Buganda esobola okwekolera ku bizibu byayo singa efuna Federo
Bya Prossy Kisakye,
Obwakabaka bwa Buganda bukinoganyiza nti bwetegefu okwekolera kunsonga zabwo zonna ezirubirira okujja abantu ba kabaka mu bwanvu ssinga government ekkiriza nébuwa federal gye buyayanidde okumala ekiseera.
Obwakabaka bugamba nti government etekeddwa okulabira ku mirimu egikoledwa obuganda omuli emwaanyi terimba, enteekateeka yókugaba omusaayi, okugemesa covid 19 néndala nti zonna zitambula bulungi ate nga nyingi kunteekateeka zino government tesobola kuzitekesa munkola.
Bino bibadde mu bubaka bwa minister wébyobuwangwa, ennono, embiriri nébyobulambuzi, Owek David Kiwalabye Male, ku mukolo kwatikkulidde bana Kyaggwe ne bannaSsingo oluwalo lwa shs obukadde 11,905,000 okuzimba obwakabaka bwabwe e Bulange e Mengo.
Minsiter wa government ezébitundu mu bwakabaka Owek Joseph Kawuki, yebaziza Ssekiboobo Eraija Bogeere olwókukumakuuma bannaKyaggwe ate nókubagatta kuba wabaddewo okugenda mu maaso munkola yémirimu gyóbwakabaka mu ssaza lino.
Okuva e Kyaggwe bazukulu ba Mazige abeddira e Mpindi baleese oluwalo lwa shs obukadde 4 nómusobyo, abasawo békinnansi baleese oluwalo lwa shs akakadde 1, obukulembeze bwéssaza obukadde 3 ate nga mu ssaza Ssingo egombolola ya Mutuba 8 Kikandwa ereese oluwalo lwa shs 3 némitwalo 89.