Amawulire

Buganda eyongedde okuvumirirra ebikolwa byokutulugunya abantu

Buganda eyongedde okuvumirirra ebikolwa byokutulugunya abantu

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2022

No comments

Bya Prosy Kisakye

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, avumiridde ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu, ebigenda byeyongera mu gwanga buli olukedde.

Owembuga asabye abobuyinza nti bakomye ebikolwa bino, kubanga kiri mu buyinza bwabwe.

Ebikolwa ebyokutulugunya abantu bigenze bibuna mu bitundu byegwanga ebyenjawulo, nga kigambibwa nti bikolebwa abakuuma ddembe ku bateberezebwa okubeera abamenyi bamateeka.

Atadde gavumenti ku nninga okulondoola abali emabega webikolwa bino, nokubabonereza okutekawo obwenkanya.

Kattikiro Mayiga era abanjizza anti abasibe abamaze ebbanga ku alimanda nga tebawozeseddwa, bayibulwe bawoze nga bava bweru.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, era akubiriza abavubuka mu bwakabaka okwetanira empaka z’aMassaza.

Ategezeza ng’empaka zino bweziyambye okugatta abantu ba Buganda awatali kusosola mu mbeera zebyobufuzi, eddiini n’ebirala.

Mayiga agambye nti empaka zino ziyamba abavubuka okwezuula nebatumbula ebitone byabwe.

Luno lwerukiiko olw’omulundi ogwa 29, okuva Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aggulawo olukiiko olwasooka okuva lweyatuzibwe mu mwaka 1993.