Amawulire

Buganda ssi yakuzza byapa

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Buganda, Ug

Obwakabaka ba Buganda buzzeemu okinogaanya nti ssibwakuzza byapabyogerwaako gavumenti

Ssabawolereza wa gavumenti yawandiikira Mengo ng’agisaba okuzza ebyapa 13 ku byapa 213 nga bino bya ttaka erisangibwa e Kooki, Buruuli ne Bugerere

Ssentebe w’ekitongole ky’ettaka mu Buganda, Kyewalabye Male agamba nti ebyapa bino bikyaali mu ngalo zaabwe era nga tebagenda kubizza

Kyewalabye ate yye y’abanjizza gavumenti ebyapa ebirala ebitannaba kufunibwa

Mungeri yemu Kyewalabye ategeezzezza nga ekitongole kya Buganda land Board bwekyongedde okugaziya empeereza zakyo okuva mu Busiro ne Kyaddondo okutuuka mu  Masaza omuli Ssingo, Buddu, ne Kyaggwe.

Kyewalabye agambye nti amatabi gano gawereddwa abaami abagenda okukola kulwa Buganda land Board naddala mu kugaba ebyapa wamu n’okuzza obuggya obusenze