Amawulire

Buganda Twezimbe efunye ekibanja ku Yintaneti

Ali Mivule

November 17th, 2014

No comments

Katikkiro listens

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero atongozezza ekibanja kya Buganda Twezimbe ku mukutu gwa yintaneti oba gyiyitte Website.

Bw’abadde atongoza  ekibanja kino owek. Mayiga agambye nti ekigenderererwa kwekwongera okumanyisa abantu ba Ssabasajja naddala ababeera emitala w’amayanja emirimu egikolebwa mu Buganda omuli n’okwekulakulanya.

Owek. Mayiga era ayongedde okugumya obuganda ng’omulimu gw’okuzimba amasiro ge Kasubi wamu n’ekizimbe kya Masengere bwegutambula obulungi. era ng’omwaka ogujja bino byakumalirizibwa.

Mayiga ayongedde n’asaba amakampuni okwongera okuwagira enteekateeka za Buganda kubanga akatale kaabwe akasinga obunene kali mu Buganda.