Amawulire

Buganda yewoze obukadde 500 okumaliriza Masengere

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

Masengere

Obwakabaka Bwa Buganda bwewozeeyo obukadde 500 okumaliriza ekizimbe kya Masengere.

Zino zeezimu ku kawumbi akalamba aketaagisa  okumaliriza omulimu gw’okuzimbe ekizimbe kino .

Bino byasanguziddwa Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga bw’abadde aggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omwaka guno wali mu Bulange Mengo.

Katikiro ategezezza nga okuva bwekiri nti balina okukwasa ssabasajja ekizimbe kino nga 13 omwezi ogwokuna nga ekirabo kye eky’amazalibwa, basazewo okwewola ensimbi zino omulimu obutayimirira.

Olukiiko nga lukulembeddwamu sipiika Nelson Kawalya era lukungubagidde munnamawulire Danny Kyazze eyafudde wiiki ewedde.