Amawulire
Bukenya awakanyiza ebyokuwebwa akasiimo
Ababaka ba paliyamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti, batabukidde abakungu okuva mu minisitule ekola kunsonga z’abakozi era nebabalagira okuzaayo ekiwandiiko kyebabadde bareese, ng’entabwe evudde kumivuyo degyisangiddwa mu mirimu gyabwe.
Ababaka bano bakulembeddwamu omubaka Florence Kintu ne Betty Nambooze.
Ekisinze okutabula ababaka bano ye minisitule okulemererwa okusasula obusiimo bwabali abakozi ba government nga kwekuli neyali omumyuka wa Pulezidenti omukenkufu Gilbert Bukenya.
Wabula yye minister omuzeezi akola ku songa z’abakozi omukyala Ssezi Mbaguta , agambye nti Bukenya bakamusasula obukadde 500 ngakati babuzaayo kumugulira nyumba.
Kyoka Gilbert Bukenya yegaanyi okufuna obukadde 500 era nategeza nti bakatandika okumula kasiimi emwaka gumu emabega.