Amawulire

Bukenya wakwesimba ku Museveni

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Bukenya campaigns for Nabukenya

Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga  Gilbert Bukenya akinaguse nti teyejusa kunonyeza munna Dp  Brenda Nabukenya kalulu mu district ye Luweero.

Bukenya yakubidde Nabukenya kakuyege  e  Luweero era nategeeza nga Nabukenya bwali omuntu omutuufu okuleetawo enkyukakyuka mu district eno.

Bukenya agamba Nabukenya Mukyala alengerera ewala, ate nga muvumu kale nga bannaLuweero tebasaanye kutunula walala nga balonda.

Wabula kyo ekibiina kye mwava ekya  NRM kiwanda muliro .Amyuka nampala w’ekibiina kino David Bahati ategezezza nga Bukenya bweyamenye ssemateeka w’ekibiina era wakusimbibwa maaso g’akakiiko akakwasisa empisa abitebye.