Amawulire
Bunkenke e Hoima
Bukyaali bunkenke e Hoima oluvanyuma lw’obukubagano obwabadde mu kitundu kino olunaku lwajjo
Poliisi ekyayiiriddwa ku kyaalo Lenju ng’eno enyumba eziwerera ddala mu 20 zatekeddwa omuliro ng’abalimi balwanagana n’abalunzi mu kitundu kino.
Abalunzi aba Bahuma n’abalimi aba Alur nga balwanira ttaka ng’abaimi bagamba nti ente zirya emmere yaabwe
Omusasi wa Monitor, Francis Mugerwa agamba nti abatuuze abamu badduse dda.
Bbo abakulembeze ne poliisi batudde mu kafubo okulaba nti kino tekibaawo.