Amawulire

Bwanika asabye bannakyewa okulwanirira bannamawulire ku ddembe lyabwe

Bwanika asabye bannakyewa okulwanirira bannamawulire ku ddembe lyabwe

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssentebe wa district ye wakiso Matia Lwanga Bwanika avuddeyo n’asaba bannakyewa abatakabanira eddembe ly’obuntu okulaba nga eddembe Lya bannamawulire likuumibwa butiribiri kubanga bano bebokka abasobola okutaasa eddembe lyabalala.

Okwogera bino asinzidde Nansana mu musomo ogwa tegekeddwa  akakiiko ka disitulikiti akavunanyizibwa ku ddembe lyobuntu okutema empenda butya abalwanirizi be ddembe ly’obuntu mu Wakiso omuli ne bannamawulire gyebayinza odikuumamu.

Bwanika ategeezeza nti banamawulire basaale mu kutumbula eddembe lyo’buntu nga bakozesa akalaamu n’olupapula naye tebayinza kikola singa nabo tebafibwako

Mungeri yeemu Robert Kirenga akulira ekibiina ekitaba bannakyewa Abalwanirira eddembe ly’obuntu ki National Coalition of human rights defenders avuddeyo n’asaba poliisi okukangavula abo bonna abatyoboola eddembe ly’obuntu era nasaba gavumenti okujja eby’obufuzi mu kulwanirira eddembe ly’obuntu