Amawulire
Cholera Yandibalukawo mu Ddwaliro ly’e Mulago
Embeera eri mu ddwaliro ekkulu e Mulago eyungula amaziga.
Kino kidiridde ekitongole ky’amazzi okusalako amazzi mu ddwaliro lino, oluvanyuma lw’okulemelerwa okusasula amazzi gebakozesa.
Kati abakulira eddwaliro lye Mulago bali mu kutya nti eddwadde omuli cholera n’ekiddukano zandibalukawo mu ddwaliro lino.
Omwogezi w’eddwaliro Enock Kusasira agambye nti ward, ebiyigo wamu nezikabuyonjo tebirina mazzi gakukozesa.
Ekitongole kya National Water and Sewerage Corporation kibanja eddwaliro lye Mulago ensimbi ezisoba mu buwumbi 6.