Amawulire
Col Shaban Bantariza aggaliddwa
Eyali omwogezi w’amaggye g’eggwanga Col Shaban Bantariza asindikiddwa mu kkomera
Ono nno yakalondebwa okumyuuka omwogezi w’ekitebe kya gavumentie kya mawulire era nga yeeli akulira ettendekero ly’abakulembeze erya gavumenti
Alabiseeko mu maaos g’omumyuka w’akulira kooti y’amaggye Brig Moses Ddiba Ssentongo.
Aguddwaako emisnago gy’obukumpanya.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga 3rd mu mwezi gw’okubiri mu mwaka gwa 2011, Bantariza ono aliko tractor no UAN 652Z gyeyakwasiibwa ng’akyakulira ettendekero ly’abakulembezekyokka n’amala ng’egyeguzizza ku bukadde 67
Emisnago gino gyonna egyegaanye era omusnago gwe negwongezebwaayo okutuus anga 23 omwezi guno.
Bantariza yakwatiddwa okuva mu maka ge e Bweyogerere nga kati ali mu kkomera ly’amaggye e Makindye.