Amawulire
Congo evuddeyo ku lyaato eryabbira
Gavumenti ya Congo kyaddaaki evuddmeu omwaasi ku bantu baayo abafiira mu kabenje k’eryaato.
Omubaka wa Congo mu Uganda Charles Lekonga asabye gavumenti ya Uganda okunyonyola obulungi kiki ekyavaako akabenje
Lekonga era agambye nti kyaali kikakata ku gavumenti ya Uganda okussaawo amakubo okwewala obubenje nga buno obuva ku bulagajjavu
Ono agamba nti okunonyereza okwakakolebwaako kulaga nti eryaato eryabbira telyaali ddamu bulungi ate nga litisse akabindo.
Eryaato lino eryaali lirina okubaako abantu 50 weryabbirira nga liriko abantu 215.
Ono wabula yeebazizza gavumenti ya Uganda olw’ebyo byonna byeyakola ku kaseera ng’abantu bano bafudde.