Amawulire
Cranes ewaze, abawagizi bagobeddwa, olukalala olutandika luluno
Omutendesi wa Uganda Cranes Micho amaze okulangirira tiimu egenda okwambalagana ne Guinea mu mupiira gw’okufa n’okuwona eri Uganda.
Uganda yetaaga akabonero kamu okuyitawo oba okuwangula.
Mu bagenda okusooka ku kisaawe kwekuli Denis Onyango,Isaac Isinde, Godfrey Walusimbi,Savio Kabugo, Andy Mwesigwa, Baba Kizito,Kizito Luwaga, Tonny Mawejje, Farouk Miya, Brian Majwega, ne Godfrey Massa.
Omupiira guno gwakutandika ku ssaawa emu era nga bangi abagwesunze omuli n’ababaka ba palamenti
Bannayuganda 14 ababadde bagenze okuwagira tiimu y’eggwanga e Morocco bagaaniddwa okuyingira nga kati bategeka kudda waka
Bano kuliko ababaka Mohammad Nsereko, MP Patrick Nsanja, Mustafah Mubiru, Barbrah Namubiru, Graham Muyingo, Solomon Magezi, Ismael Lilili, Jaffer Kasiita Kaweesi, Yusuf Lukwago, Ester Babirye, Pheona Namiiro, Richard Kasule, Esther Karungi, Victoria Niuwe.
Ekibinja kino kigaaniddwa okuyingira ng’eggwanga lino lyekengera ekirwadde kya Ebola .