Amawulire
Desire yetonze olw’ebifananyi by’obuseegu
Omuyimbi Desire Luzinda aludde ddaaki neyetonda olw’ebifananyi bye eby’obuseegu ebyafuluma
Mu bbaluwa gy’atadde ku mikutu gwa YIntaneti ogwa Facebook, Luzinda agambye nti ebifaananyi bino byasasanyizibwa omwagala we gw’aludde ebbanga ng’amwesiga , wabula n’amwefuulira.
Ono akakasizza nti kyamazima ebifanannyi bino yabyekubisa mu kyama nga omuntu yenna omulala, wabula ng’okusaasana kwabyo kumuleetedde okuswala ng’omuzadde ate omuyimbi alina abagoberezi
Desire agamba nti newankubadde ensi emulamudde bulala, naye abamutegeera bakimanyidde ddala nti mukyala ayeewa ekitiibwa.
Bino webigyidde nga poliisi emweetaga n’omwagalwe munansi wa Nigera kakaano atali mu ggwanga , nga bano balina okunyonyola ekigendererwa kyebaalina mukwekwata obutambi nga bali mu mukwano