Amawulire
DP ekunze bannauganda okuwakanya ekyókugyawo beyilo
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party,kyenyamivu olwólukiiko lwa baminisita okuyisa ekiteeso ky’omukulembeze weggwanga okwagala abateberezebwa okuzza emisango egyannagomola okugibwako olukusa olwokufuna beyilo.
Olukiiko lwa baminisita lwayisiza ekiteeso kino nga kati Bagala ssemateeka ataganyulwa akawayiro akókweyimirira abali ku misango eminene kagibwemu era Bagala omuntu bwati amale ebbanga lya myezi 6 mu kkomera ngókunonyereza bwekugenda mu maaso.
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi wa DP, Okoler Opio, akunze bannauganda okusimbira ekuuli entekateeka eno nga agamba nti kuba kulinyirira ddembe lya buntu.
Era sabye palamenti obutagendera ku kirowoozo kyomuntu omu wabula batunulire ki bannauganda kyebagala.
Bannakyewa, bannabyabufuzi nábantu abalala bazze bawakanya ekiteeso kyomukulembeze weggwanga nga bagamba nti ssemateeka alambika bulungi kwani alina okuweebwa beyilo natalina