Amawulire

DP eweze kakuyege- Kakande azze ewa Mao

Ali Mivule

February 17th, 2015

No comments

MAO @ DP Press conference 3

Ekibiina kya DP kyegasse ku kinaakyo ekya NRM mu kuwera okunoonya akalulu nga ttabamiruka w’ekibiina tannatuulibwamu.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero, ssenkagale w’ekibiina kino Nobert Mao ategezezza nga bamemba abamu bwebatandise dda kakuyege ekimenya amateeka g’ekibiina.

Mao kati ayise ab’ekibinja ekyeyita ekya  “DP Buganda”babitebye ku bigambibwa nti bagenda bakuyega wamu n’okusemba abagenda okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti.

Mao asabye bannakibiina okugumikirizako kubanga bali mu nteekateeka ezisembayo okutegeka ttabamiruka ono.

Mungeri yeemu enteseganya za Mao n’abekiwayi ekyamwekutulako zigenda zivaamu ebibala.

Eyali omwogezi w’ekibiina kino  Kenneth Kakande  akomyewo mu kibiina era n’asuubiza okuperereza abalala bave mu njawukana begatte nga betegekera okulonda kwa 2016.