Amawulire

DPP asabye Kkooti okujjulira kwa Troy avunaanibwa okutta Omuyimbi Radio kugobwe

DPP asabye Kkooti okujjulira kwa Troy avunaanibwa okutta Omuyimbi Radio kugobwe

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti esabye kkooti ejulirwamu egobe okujulira kwa Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy mw’awakanyiza ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 14 ekyamuweebwa ku byokutta omuyimbi Moze Radio.

Wamala yasingisibwa omusango mu October wa 2019 omulamuzi Jane Frances Abodo ng’asinziira ku bujulizi obwaleetebwa ku butemu obwakolebwa ku muyimbi Radio.

Oluvannyuma lwokusalibwa ekibonerezo Troy yaddukira mu kkooti enjulirwamu okuwakanya ekibonerezo kye myaka 14 nga ali mu nkomyo.

Wabula Omuwaabi wa gavumenti, Joseph Kyomuhendo asabye Kkooti egobe okujulira kuno nga yeekwasa nti Wamala ne ttiimu ye tebalaze bwetegefu kugenda mu maaso n’ensonga eno.

Agambye nti okuva ku lunaku lwe baassaayo ekiwandiiko kino, ttiimu eno tennassaayo biwandiiko biraga nsonga zaabwe ze bajulira.