Amawulire

DPP wakudamu yeetegereze fayilo zábawambe-Museveni

DPP wakudamu yeetegereze fayilo zábawambe-Museveni

Ivan Ssenabulya

March 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Olutuula lwómukago ogutaba ebibiina byóbufuzi ebirina abakiise mu palamenti, ogwa IPOD olutudde olunaku olwaleero lukkiriziganyiza omukulembeze wéggwanga ayogerezeganye ne ssabawaabi wa gavumenti okudamu okwekenenya emisango egyatereddwa ku bantu abawambibwa basobole okuyimbulwa.

Pulezidenti Museveni akubiriza olutuula luno agambye nti bakuyimbulayo abasibe 51 nga tebateredwako bukwakulizo era bayambibweko okuzimba obulamu bwabwe.

Senkagale wekibiina kya DP Norbert Mao yaleese ekiteeso kino nga ayagala file ze misango gyabwe zidemu okutunulwamu.

Abamu ku basibe bavunanibwa emisango okuli okwenyigira mu kwekalakaasa, okusangibwa ne byokulwanyisa okukunga abantu baleetewo obutabanguko mu kulonda.

Museveni agamba nti abagenda okuyimbulwa bakizudde nti baali bawubisibwa okwenyigira mu bumenyi bwa mateeka.

Mungeri yemu Omuk weggwanga aggummiza obukulu bwokutuula ku meeza ne na bamuvuganya nti lye limu ku kkubo eryokumalawo obutakanya.