Amawulire
Dr Aggrey Kiyingi wakwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Omusawo w’emitima naye ng’emirimu gye agikolera mu Australia Dr. Aggrey Kiyingi agamba nti nebwebanamutiisatiisa tajja kuva ku kiruubirirwa kye eky’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Kiddiridde gavumenti okutegeeza nga bw’erina obujulizi obulaga nti ddala Kiyingi yeeyali emabega w’abayisiraamu abaattibwa ng’ayagala kugivumaganya
Kiyingi agambye nti tasisinkanangako musiraamu yenna nga gavumenti bw’egamba era nga talina kakwate na basiraamu
Ono wabula alayidde nti wakusigala mu lutalo lw’okulaba nti eggwanga linunulwa okuyita mu kalulu