Amawulire
Dr Rugunda alayiziddwa, amaggye geeganye okuketta Mbabazi
Ssabaminisita w’eggwanga omuggya Dr Ruhakana Rugunda alayiziddwa mu butongole okukkakkalabye emirimu
Ono alayiziddwa mu maka ga pulezidenti Entebbe, kumukolo ogwetabiddwaako pulezidenti, n’abenganda za Rugunda
Rugunda yeeyamye okukwatagana obulungi ne ba minister okulaba nti emirimu gya gavumenti gitambula bulungi.
Yye pulezidenti Museveni amwogeddeko ng’omusajja omuganzi era akimanyi nti emirimu ajja kugisobola
Bino bibadde biri biti ate amaggye negawakanya ebigambibwa nti ekyagatwaala ewa Mbabazi kujjayo byuuma ebirumika byebaali bassaayo
Kiddiridde ebyafulumidde mu mawulire nga biraga nti akulira eby’empuliziganya mu maggye Col Victor Twesigye g’ono nno yali mpagi ya Mbabazi luwaga yali yassa ebyuuma bino mu nju nga bimuyamba okulumika ebigenda mu maaso mu mawanga amalala n’ebiyinza okukolebwa abayeekera
Omwogezio w’amaggye g’eggwanga Lt Col Paddy Ankunda agamba ebyo byonna byabulimba kubanga tebalina byuuma byebaali batadde wa Mbabazi.
Agamba amaggye galiwo kukuuma bantu n’abajaasi baago sso ssi kubeeramu kyekubira n’abantu ssekinoomu.