Amawulire
E Iganga owemyaka 70 yetuze
Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bugumba A mu district ye Iganga bwebagudde ku musajja ow’emyaka 70 nga yetuze.
Omugenzi ategerekeseeko lya Peter nga bamusane mu nnyumba mwasula.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi agambye nti ono ekyamuviriddeko okwetta tekinamanyika.
Omulambo kati gutwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro e Nakavule, ngokunonyereza kugenda mu maaso.