Amawulire

E Kaberamaido Basaddaase omuntu

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

 

hat

Entiisa ebutikidde  abatuuze mu gombolola ye Ochero  mu disitulikiti ye Kaberamaido oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omusajja ow’emyaka 33 nga gusaliddwako ebitundu byagwo eby’ekyaama.

 

Omugenzi ategerekese nga Simon Peter Olobo  omutuuze ku kyalo Amotot nga era kiteberezebwa nti yasaddakiddwa.

Okusinziira ku batuuze, omugenzi yabula okuva ku lunaku olwokubiri nga era omulambo gwe gusangiddwa nga gugangalamyue kumpi n’akatale k’ente.

 

Omwogezi wa poliisi mu birundu bino  Hassan Juma Nyene, ategezezza nga bwebakyayigga bakalittima abaakoze kino.

 
Nyene agamba abantu 10 beebakattibwa mu kitundu kino nga okusinga obutemu buno bwekuusa ku nkayana za ttaka.