Amawulire

E Lwengo abayo enkuba ebalese bafumbya miyagi

Ali Mivule

November 28th, 2014

No comments

floods in Kasese

E Lwengo amaka agasoba mu 17 gali ku ttaka oluvanyuma lwa namutikkwa w’enkuba afudembye mu bitundu bino .

Enkuba eno ebaddemu ne kibuyaga ow’amanyi n’omuzira esaanyizzaawo n’ensuku eziwerako nga kw’ogasse emisiri gya muwogo, ebijanjalo n’ebirime ebirala .

Ekyaalo kya  Bugaga Zone mu tawuni kanso ye Kinoni  kyekisinze okukosebwa
Bosco Ssebyoza nga y’omu ku bafiiriddwa ebyabwe agamba obusolya obusinga butikuddwa nga ekisinza okubaluma kwekuba nga babadde banaatera okukungula ebirime byabwe wabula kati tebakwasizzamu.

Yye amyuka ssentebe Olive Nalweyiso atiddemu nti enjala yandibalumba kale nga minisitule y’ebigwa tebiraze esaanye okubaddukirira.