Amawulire
E Lwengo bali mukusattira lwa Kibbaluwa ekiragiraokutta abanyarwanda abaliyo
Bya Gertrude Mutyaba,
Waliwo obweraliikirivu obubaluseewo mu district ye Lwengo oluvannyuma lw’abantu abatanategeerekeka okuwandiika ekipappula ekitiisatiisa okutta abantu naddala abanyarwanda saako n’abebyokwerinda.
Ekipappula kino kyasuuliddwa ku kyalo Kyoko, mu muluka gwe Kagganda mu gombolola ye Kkingo mu district ye Lwengo.
Ekibaluwa kyetulabyeko, kisiiga obukyayi ku Banyarwanda era nga kiragira abantu bonna mu kitundu kino okutandika okutta abanyarwanda wonna webabasanze nga singa kibalema, baakwenyigiramu butereevu saako n’okutta ab’ebyokwerinda.
Kati kino kiwalirizza abatwala eby’okwerinda mu bendo-bendo lye Masaka nga bakulembeddwamu omuduumizi wa poliisi mu bitundu bino Alfred Bangambaki, Akulira poliisi ye Lwengo, Julius Musaazi, Amyuka Omubaka wa President Robert Kambugu n’abalala okusitukiramu nebasisinkana abakulembeze b’okubyalo 39 ebikola egombolola ye Kkingo nga ensisinkano eno ebadde ku ggombolola ya Kkingo e Lwengo.
Mu lukiiko, abatuuze bambalidde abasirikale olw’obutakola mulimu gwabwe nga bwebateekeddwa saako n’okubalangira okubeera n’olugambo kw’abo ababeera babawadde amawulire.
Ssentebe w’egombolola ye Kkingo Aloysius Kibira Muwonge agamba nti babade balina obweraliikirivu okusinziira ku ngeri ebijambiya gyebyakosaamu ekitundu kyabwe.
Aduumira poliisi mu bitundu bye Masaka Alfred Bangambaki ategeezezza nga abaasudde ekibaluwa kino bwebatiisatiisa wabula naasaba abantu okwongera okuwa poliisi amawulire ku bantu bano.