Amawulire

E Makerere bekalakaasa lwa mmere

Ali Mivule

May 8th, 2014

No comments

zzzz

Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere  bazzeemu okwekalakaasa lwa mmere.

Bano nga bavudde mu kisulo kya Nsibirwa balumbye ewatuula abakulira ettendekero lino babanyonyole lwaki oluusi basula enjala nga ate basasula ssente nyingi.

Bakoze effujjo bwebayiye ebijanjalo n’akawunga mu ofiisi y’akola ku mbeera z’abayizi bano nga bamulanga butafaayo.

Akulira abayizi ku ttendekero lino Ivan Bwowe agamba abakulira abayizi n’abasomesa ensonga bazikolako.