Amawulire

Ebbago ku bisanyizo byóbuyigirize eri abagala obwa pulezidenti lijja

Ebbago ku bisanyizo byóbuyigirize eri abagala obwa pulezidenti lijja

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Tororo, Sarah Opendi ayagala olukusa kugendako mu luwumula aveeyo ne bbago lye tteeka elikwata ku bisanyizo eri omuntu ayagala okuvuganya kuntebbe eyobwa pulezidenti ku mutendera gwobuyigirize byalina okuba nabyo.

Mu bbago lino Opendi ayagala abagala obwa pulezidenti nobubaka bwa palamenti babeere ne diguli eyokubiri.

Mu kiseera kino, abantu abalina ebisaanyizo bya A’level oba ebyenkanankana nabyo balina ebisaanyizo okulondebwa ku kifo kya pulezidenti nobubaka bwa Palamenti.

Okusinziira ku Opendi, okutandikawo enkola ya bonna basome kyavaako abayizi bangi okuba mu masomero nga abayizi beeyongedde okuva ku 290,000 okutuuka ku 950,000 mu myaka etaano.

Yagasseeko nti omuwendo gwa yunivasite nagwo gweyongedde okuva kwemu mu 1922 okutuuka ku 53 nga n’abayizi abagenda ku university beyongedde.

Wano walagidde obwetaavu bw’okukyusa ebisaanyizo ebyetaagisa okulonda pulezidenti n’ababaka ba palamenti okusobola okukwatagana n’okulinnya kw’omutindo gw’ebyenjigiriza ogutuukiddwako mu Uganda.

Era agamba nti ebifo 40% mu Palamenti birina okuterekebwa abakyala okusobola okutuukiriza obweyamo bw’eggwanga ku ky’okwenkanonkano mu kikula ky’abantu.