Amawulire
Ebbago ku bisiyaga likomawo mu Paalamenti sabiiti ejja
Bya Elizabeth Kamutungu ne David Lubowa
Akakiiko ka Parliament akavunanyizibwa ku by’amateeka kategeka kukomyawo bbago ku bisiyaga eri Parliament ku lw’okubiri lwa sabiiti ejja liddemu okukubaganyizibwako ebilowoozo nga bwekasabibwa omukulembeze w’eggwanga.
Akakiiko kano, olunaku lw’eggulo kaalumaze kaddamu okwetegereza obumu ku buwaayiro omukulembeze w’eggwanga bweyasimbako amannyo.
Sentebe w’akakiiko Robinah Rwakoojo agamba nti olunaku lwa leero bagenda kulumala mu kuwandiika n’okukola alipoota gyebanayanja eri Parliament ku lunaku lwokubiri.
Omukulembeze w’eggwanga mu butongole yakomyawo ebbago lino ku lunaku lw’okusatu olwa sabiiti eno oluvanyuma lw’okusisinkana akakiiko kano nebabaako byebakanyako ebisanye n’ebitasanye kulabikira mu bbago lino.
Museveni ayagala ebbago lino lilowooze ku ky’okubudaabuda abo abanasangibwanga nga bayingizibbwa mu bikorwa by’obuli bwebisiyaga nga tebeyagalidde ate okusinga okubavunaana.
Omumyuka wa Speaker Thomas Tayeba akakiiko yakasabye omuli gwekaliko okugiyisa mu bwangu kuba banna Uganda bangi etteeka lino balirindilidde nga mbaga.