Amawulire
Ebbago ku Siriimu Balisimbidde Ekkuuli
Okuyisa ebbago lya siriimu omuli enyingo eziragira abasawo okwasanguza abalina siriimu wamu n’abakyala okukaka ba bbababwe okugenda okwekebeza sirimu kukyagyamu abantu abenjawulo omwasi.
Okusinziira ku kibiina ekirwanirira eddembe ly’abawangaala ne siriimu nga kwogasse amateeka ekya Uganda Network on law, Ethics and HIV, singa ebbago lino litekebwako omukono omukulembeze w’eggwanga mu mbeera eno gyelirimu, bannayuganda abali eyo mu 67% abatanekebeza siriimu bakwesamba okwekebeza.
Akulira ekibiina kino Dora Musinguzi agamba nti yadde nga bawagira enyingo mu bbago lino elirwanirira abo abawangaala ne mukenenya, enyingo nga eya 21, 23, 39 and 41 zisaanye zisangulwe mu bbago lino nga terinafuuka tteeka.
Omu ku bakungu mu kibiina kino Noreem Kaleeba anyonyola.
Mu bbago lino singa omuntu asiiga munne siriimu mu bugenderevu asibwa emyaka 10 oba okusasula engassi yabukadde 5, obba byonna.