Amawulire

Ebbeeyi yámafuta esuubirwa okwongera okulinnya

Ebbeeyi yámafuta esuubirwa okwongera okulinnya

Ivan Ssenabulya

October 28th, 2022

No comments

Bya Tom Angurin,

Ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okulinnya mu ggwanga oluvannyuma lw’ekibiina ekigatta amawanga agafulumya amafuta ebweru w’eggwanga ekya OPEC okulangirira nti okutandika nga November 1st kigenda kukendeeza ku bipipa by’amafuta obukadde bubiri ku katale k’ensi yonna.

Kino kijjidde mu kiseera nga banka enkulu ezisinga okwetoloola ensi yonna zongedde amagoba okulwanyisa ebbeeyi y’ebintu evudde ku ssennyiga omukambwe n’olutalo lwa Russia-Ukraine.

Ayebare Rukundo, maneja akola ku kwekenneenya eby’enfuna n’ebyensimbi mu kitongole kya Petroleum Authority Uganda (PAU) agamba nti amafuta agaliwo kati gaagulibwa emyezi 3 egiyise era gye buvuddeko emiwendo gibadde gisse olwobungi bwa mafuta agabadde ku katale k’ensi yonna.