Amawulire

Ebbugumu ly’eyongedde mu kuvuganya kubwa sipiika

Ebbugumu ly’eyongedde mu kuvuganya kubwa sipiika

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2022

No comments

Bya Basasi Baffe

Amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among, kitegezeddwa nti agenda kuvuganya ku kifo kya sipiiika wa palamenti.

Ono asubirwa okujjayo empapaula ku gwandiszo lyekibiina kya NRM olwaleero, okulaga obwagazi okuvuganya.

Abakulu mu kibiina kya NRM baayise ba memba baabwe mu palamenti okujjayo empapaula olwaleero, okuvuganya ku kifo kya sipiika okwakuddwawo.

Akakiiko kebyokulonda mu kibiina kekavunayizbwa ku ntekateeka eno, era omulimu gugenda kutandika okuva ku ssawa 3 okutukira ddala ku 11 akakwungeezi.

Amyuka ssentebbe owakabondo kababaka ba NRM, Herbert Kinobere olunnaku lweggulo yakaksizza nga Among bwagenda okuvuganya kubwa sipiika.

Wabula akulira ebyamwulire mu palamenti Chris Obore akawungeezi akayise, asambazze amwulire agabadde gagamba nti Among yalekulidde ekifokyamyuka sipiika wa palamenti, okusobola okuvuganya kubwa sipiika.

Obore yagambye nti kalaani wa palamenti teyafunye kulekulira kwonn okuva ewa Among, kubanga ne tteeka terilambika nti mu mbeera eriwo atekeddwa okulkulira ekifo kyalina.

Kino kitegeeza nti asobola okuvuganya butereevu kubwa sipiika, atenga asigazza ekifo kyamyuka sipiika.

Minisita wamwulire, ebyuma bi kalimagezi nokulungamya egwanga Dr Chris Baryomunsi akunze abavuganya gavumenti nabo okutandika okwetegekera okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti.

Okuvuganya kwaguddwawo, ngolukiiko lwa NRM olwa CEC lugenda kutuula olunnaku lwenkya okwekennenya abanaaba balaze obwagazi okuvuganya, akabondo kekibiina katuule ku Lwokuna, okulnda sipiika kuberewo ku lunnaku Lwokutaano.

Wabula bweyabadde ayogera ne bannamwulire, Baryomunsi yagambye nti nabavuganya batekeddwa okutandika okwetegeka.

Mungeri yeemu, okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti kweyongeddemu ebbugumu, kyekyogerwako mu gwanga wonna.

Gano gemannya gabamu ku basubirwa mu lwokaano; omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea Anita Among, omubaka wa Terego East Obiga Kania, minisita webibamba nebigwa tebiraze Hillary Onek, minisita webyemizannyo Obua Hamson, omubaka wa Dokolo South Felix Okot Ogong.

Abalala kuliko omubaka we Lwemiyaga Theodore Ssekikubo nomubaka we Bbale Charles Tebandeke

Kati twogeddeko n’omubaka Ssekikubo, ngagambye nti yalekebwa ebbali songa banne mu NRM bwebavuganya kubwa sipiika babawa obwa minisita nebadda ku bbali.

Omubaka wa munisipaali ye Kiira Ibrahim Semujju Nganda agambye nti watekeddwa okuberawo obwenkanya nabavuganya gavumenti ku bifo ebibiri, bawebweko wakiri ekifo kimu.