Amawulire
Ebibiina byábavubuka 17 e Mityana bifunye ensimbi zábavubuka
Bya Prossy Kisakye,
Ebibiina byábavubuka 17 mu district y’e Mityana, biweeredwa ensimbi z’okwekulakulanya muntekateeka ya gavument eya Youth livelihood program.
Buli kibiina kifunye ssente obukadde musanvu nekigendererwa eky’okugoba obwavu mu bavubuka, nga betandikirawo emirmu egyenjawulo.
Obukadde 135 zeziweereddwa abavubuka mu bibiina ebyenjawulo, era nga abavubuka bano bavudde mu magombolola mwenda nga buli kibiina kyegatirwamu abavubuka abatakka wansi w’abatano,.
Omukolo ogw’okugaba ensimbi zino gubadde ku kitebe kya district nga gukulembedwamu amyuka akulira abakozi mu district eno Jacob Byaruhanga, nga aliwamu nessentebe wa district ye Mugisha Patrick nshiimye, saako nabavunanyizibwa ku mirimu egyekikugu mu kitongole ekyekikula ky’abantu abakozi nenkulakulana.
Bwabadde ayogerako eri abavubuka banno Byaruhanga, bano abakutidde okukozesa obulunji ensimbi zino, era nokukimanya nti ssente zinno gavument ezibawoze sosi kubawa buwi nga abamu bwebalowoza, nga nabwekityo basanye bazikozese ate bazizeeyo nebanaabwe basobole okuzifuna.
Bbo abamu kubavubuka abafunye ssente zino bebazizza gavumenti olw’okubalowozaako, kyokka bano bakakasizza nga bwebagenda okukozesa ssente zino okusobola okwegya mubwavu.