Amawulire
Ebibira by’eyongeddeko obungi ne bitundu 13.4%
Bya Prossy Kisakye,
Ebibira mu ggwanga byeyongeddeko okuva ku bitundu 9.5% nga bwebyali mu 2005 okudda ku 13.4% mu 2021.
Bino byogeddwa minisita wámazzi nóbutonde bwensi Sam Cheptoris, mu kugulawo olukungana lwa StockHolm+50 National Consultation.
Obubakabwe bwetikiddwa omuwandiisi owenkalakalira mu minisitule eno, Okidi Okot, agambye nti Uganda eriko wetuuse yadde nga wakyaliwo olugendo lunene mu kuzaawo ebibira nga gavumenti eyagala mu myaka 10 mu maaso okweyongera kwe bibira kube ku bitundu 18%
Ebitundu 13.4% Okot agambye nti kivudde mu maanyi gavt getademu okuzaawo ebibira mu central forest reserves okusimba emiti egyensimbi.
Era ategezeza nga minisitule bwetandise kawefube owokuzaawo ebibira ebyasanyizibwawo nókukola obulimi bwe bibira Uganda ebe ne bika bye miti egyenjawulo.