Amawulire
Ebidiini bisusse
Ababaka ba palamenti batabukidde gavumenti olw’okwesulirayo ogwanagamba ku bidiinidiini ebyeyongera okumerukawo mu ggwanga buli lukya.
Kino kiddiridde banji ku bakulembeze b’ebidiinidiini bino okugaana bakulembeze babyo okubalibwa.
.Ababaka okuli Reverand Bakaluba Mukasa bagamba gavumenti mpaawo kyekoze kulwanyisa nzikiriza zino eziwabya abantu nga ate zeyongera kusimba makanda mu ggwanga.
Agamba singa mpaawo kikolebwa ebyaliwo e Kanungu Kibwetere nga ayokya abantu byandiddamu.