Amawulire
Ebya P.7 bifulumye- ebigezo by’abayizi 1,424 bikwatiddwa
Ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu bifulumiziddwa.
Abayizi abalenzi basinze abawala okukola obulungi ate nga lyo essomo ly’ebyafaayo( SST) lyeryasinze okukolebwa obulungi
Kuno kuzzeeko okubala(Maths) nekuddako Sayansi ate nga lyo essomo ly’oluzungu likoleddwa bubi
Ezimu ku disitulikiti ezikoze obulungi kuliko, Wakiso, Kampala, Mbarara , Mukono n’endala ate nga yyo Bukwo y’esinze okukola obubi
Ebigezo by’abayizi 1,424 bikwatiddwa lwakubba bigezo.
Bano kiteberezebwa okuba nga bayambibwaako abasomesa baabwe
Agamu ku masomero agakoseddwa kuliko Masajja modern, 26 St Matia grammar e Mpigi ,Ndejje view, Mayirikiti n’amalala.