Amawulire

Ebigezo bya siniya eyómukaaga bifulumye

Ebigezo bya siniya eyómukaaga bifulumye

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ssabawandiisi wa UNEB Daniel Odong ategeezezza nga abayizi abasinga obungi abatuula ebigezo bya Siniya ey’omukaaga omwaka oguwedde, bayise okugenda ku matendekero agawaggulu okukira ku bannabwe abatuula omwaka ogwa 2021.

Ng’ayogerera ku mukolo gw’okufulumya ebigezo bya Siniya ey’omukaaga ebifulumiziddwa enkya ya leero, Odongo ategeezezza nga abayizi omugatte gwa mitwalo 9 mu7,890 bebewandiisa okutuula ebigezo nga ku bano omugatte gw’abayizi emitwalo 9 mu 6,557 bebalabikako mu kisenge omwatulirwa ebigezo.

Okuzinziira ku Odongo,  omugatte gw’abayizi  emitwalo 9 mu 5,787 (99.2%) bayise nga bwegwali mu mwaka 2020.

Okusizniira ku bivudde mu bigezo, abayizi ebitwalo 4 mu 1,974 bafunye principal pass e 3.

Abayizi emitwalo 2 mu 5,841 bafunye principle passe 2, abayizi, abayizi omutwalo 1 mu 9,382 nebafuna principle passe 1 ate abayizi 9,590 bebafunye 1 subsidiary.

Abalala 770 bo bagudde ebigezo nga keybalina okukola kwekuddamu ebigezo ebyo.

Wabula ku bayizi emitwalo 9 mu 5,787 abayisemu okuna ebbaluwa ya UNEB, abayizi emitwalo 6 mu 8,815 bayise okwegatta ku zi University.

Odongo  agamba nti omuwendo gwabanagenda ku University gwandeyongerako singa kinakakasibwa nti n’abafunye sub sidiary pass 2 nga balina ne principal pass 1 bannakirizibwa okugegattako okutuuka mu 8 mu 6,197.

Mu kugerageranya, abayizi abakoze ebitundu 70.3 ku 100 bayise okwetta ku zi University bwogerageranya n’abayita mu 2020 abakola ebitundu 69.8%.