Amawulire

Ebigezo bya siniya y’okuna- abasomesa badduse n’ensimbi

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Examinations new

Abayizi kkumi aba siniya y’okuna ku essomero lya Kalumba Standard SS basobeddwa eka ne mu kibira oluvanyuma lw’akulira essomero okubabulako

Essomero lino lisangibwa kumpi n’ekibuga kye Matugga ng’omukulu ono abalinze nebayingira n’ekifo mwebagenda okutuulira ebigezo

Atwala poliisi ye Bombo Richard Emuna agamba nti abayizi bano babakakasizza nti ebigezo bakubituulira e Bombo ku kitebe era bano nabo nebakkiriza

Omukulembeze w’essomero lino ategerekese nga Emmanuel Kuteesa ng’ono abadde wamu ne nanyini somero Richard Kyagera.

Embeera yeemu ku ssomero lya Booma international school ng’eno abayizi 48 beebatakoze bigezo

Poliisi ye Mbarara emaze okukwata akulira essomero lino Robert Mwebaze okugiyambako mu kunyonyola awaavudde obuzibu

Bbo abayizi abasoba mu 30 mu masomero g’obukiikakkono beebatakoze bigezo ng’abamu babadde tebannamalayo fiizi ate abalala mbuto zeezibadde zibatawaanya

Abasinga ku bayizi abakoseddwa bava mu South Sudan mu disitulikiti ye Moyo.

Akulira essomero lya Moyo Town Secondary School, Jefferson Bandruga agamba nti abayizi 190 beebatakoze bigezo

Ate yyo mu disitulikiti ye Adjuman, ebibuuzo bituuse kikereezi

Emotoka ebadde etambuza ebigezo kigambibwa okuba ng’efunye ebisibu mu kkubo kale n’ebigezo nebikereewa

Mu disitulikiti ye Yumbe, empappula ezikozesebwa okuddamu ebibuuzo ziweddewo ekikosezza ebigezo

Abayizi ba siniya y’okuna batandise ebigezo olwaleero .