Amawulire
Ebigezo bya Siniya y’okuna bitandise
Abayizi ba siniya ey’okuna olwaleero lwebatanidse ebigezo byaabwe ebya kamalirizo
Abayizi abasoba mu mitwalo 29 beebatudde ebigezo bino okusinga ku mitwalo 26 abatuula omwaka oguwedde.
Ebifo ebisoba mu mitwalo ebiri mu kanaana byebituuliddwaamu ebigezo okwetoloola eggwanga nga nebakalondoozi abasoba mu lukumi beebabaddewo okukuuma ebigezo
Bbo abazadde balabuddwa obutawa baana babwe nsimbi mbu zakugula bibuuzo kubanga byonna ebitundibwa bikyaamu.